Amawulire
Abaana bésomero basatu bafudde
Bya Nalwooga Juliet,
Poliisi mu Disitulikiti y’e Butaleja ekutte dayirekita w’essomero lya Golden Heart Junior Nursery and Primary School ku kyalo Buwesa mugombolola ye Busabi oluvannyuma lwékikomera ky’essomero okugwa abayizi basatu ne bafiirawo n’okulumya abawerako.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Bukedi South, Moses Mugwe ategeezezza nti omuyizi omu yafudde mu kifo ate abalala babiri ne bafiira mu ddwaaliro ekkulu e Busolwe nga bakatuuka.
Omukwate ategerekese nga Bonny Owor nga mu kiseera kino akkumiddwa ku Poliisi y’e Butaleja era nga aguddwako emisango gyobutemu.
Okunoonyereza kulaga nti akasolya k’ekizimbe ky’essomero katikuseko olw’enkuba eyatonnye ku Ssande.
Wabula ate ekikomera okuggwa kitegeerekese nti abasomesa bebabadde balagidde abayizi bakisindike kiggwe ku ttaka.
Mugwe awadde bannannyini masomero n’abagaddukanya amagezi bulijjo okukebera n’okukakasa nti ebifo by’amasomero biri mu mbeera nnungi okwewala obubenje nga buno.