Amawulire

Abaana b’essomero 3 bafiiridde mu kabenje mu kibuga Mbale

Abaana b’essomero 3 bafiiridde mu kabenje mu kibuga Mbale

Ivan Ssenabulya

April 12th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Waliwo abaana 3 bonna nga bawala abafiiriddewo mu kabenje, oluvanyuma lw’okutomerwa emipiira gy’ekimotoka ki Sino truck egikibuseeko nga bagenda ku somero enkya ya leero mu kibuga Mbale.

Motoka ekoze akabenje kano ebadde namba UBH 126J/UAX 012V ng’ebadde eva ku ludda lw’e Tororo okumpi ddala n’esundiro ly’amafuta elya Hash ku luguudo oluva e Tororo okudda e Mbale.

Abagenzi kuliko Namugosa Shakira, emyaka 9 ng’abadde asomera ku Malukhu Primary School, Wasike Jane  emyaka e 3 n’ekitundu ne Wasike Grace  emyaka 12 bombi nga babadde bayizi ku somero lya Nabuyonga Primary School agasangibwa mu kibuga Mbale.

Rogers Taitika, ayogerera Poliisi mu bitundu ebya Elgon, agamba nti ne dereeva wa motoka eno  ekoze akabenje ategerekeseeko elya Geoffrey, Poliisi esobodde okumukwata.

Emirambo gy’abaana bano gitwaliddwa mu dwaliro ekkulu e Mbale okwongera okwekebejebwa abasawo.