Amawulire
Abaana mu Africa bagenda kugemebwa omusujja gwensiri
Bya Ritah Kemigisa
Abaana bonna ku lukalu lwa Africa bagenda kugemebwa ekirwadde kyomusujja gwensiri, mu kawefube owebyafaayo okulwanyisa ekirwadde kino.
Obulwaddde bwa Malaria kikyali kizbu kyamaanyi, era butta abaana bangi abawera.
Kati abakugu baasobodde okuvumbula eddagala erigema, lyebatuumye RTS, S Vaccines, nga lyakakaksibwa emyaka 6 emabega.
Eddagala lino lyakolebwako okugezesa mu Ghana, Kenya ne Malawi, era ekitongole kyaebyobulamuz musni yonna ekya World Health Organization bakaksizza nti okugema okwawamu kugenda kutandika.
Ssenkulu wa WHO, Dr Tedros Adhanom alaze essuubi mu ntekateeka eno.
Ebibalo biraga nti abaana emitwalo 26 bebafa omusujja gwensiri mu mwaka gwa 2019.