Amawulire

Ababadde balina okukola ebigezo bya PLE baddukidde mu bufumbo

Ababadde balina okukola ebigezo bya PLE baddukidde mu bufumbo

Ivan Ssenabulya

October 28th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Ab’obuyinza mu Disitulikiti y’e Bugiri batandise omuyiggo ku bayizi békibiina ekyomusanvu 2 ababuzze kussomero nebeewasa.

Ng’ebigezo bya Pulayimale ebya 2022 bibulako nnaku bunnaku, ebitandika nga November 8 ne 9, ab’obuyinza banoonya abayizi 2 abaawandiisibwa ku ssomero lya Buluguyi Primary School e Muwayo Town Council kyokka okuva olwo ne badduka.

Omukulu w’essomero lino John Lukolobe abuulidde Dembe FM nti aboogeddwako nga bonna balina okwenyigira mu kukola ebigezo byabwe ebyakamaliriizo ebya Uneb badduse ne babulawo nga wayise akaseera katono ng’omulimu gw’okubawandiisa guwedde.

Lukolobe agamba nti basazeewo okuyamba ku bazadde babaana bano kubanga obudde bw’ebigezo busembedde

//////////////