Amawulire

Ababadde bawambye ow’emyaka 2 babakutte

Ababadde bawambye ow’emyaka 2 babakutte

Ivan Ssenabulya

March 16th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi e Masaka eriko abantu 2 bekutte ku byokuwamba omwana owemyaka 2, nga babaddenga basaba omusingo basobole okumuta.

Bino byabaddewo mu gandaalo erya sabiiti, ku kyalo Kabaawo mu tawuni kanso ye Mutukula mu distulikiti ye Kyotera.

Eno owa bodaboda, yagenda mu maka ga Caroline Nnalongo, nategeeza omukozi we nti mukama we yamutumye amuwe omwana omuwere Kato Shaza.

Omukozi yawaayo omwana, nga tamaze kwebuuZa obanga ddal mukama we yeyali amutumye.

Poliisi oluvanyuma yasobodde okulondoola Shapfik Mugamba muganda womuvunanwa era nabasobola okununula omwana ono okuva ku kyalo Mbuye mu tawuni kanso ye Kasaali.

Omwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga ngagambye nti omwana babadde bamukwese ewa maama waabwe.

Kati poliisi yakutte maama, ne mutabani we Sulait Mugamba bayambeko mu kunonyereza.