Amawulire
Ababaka abaagobeddwa bawanda muliro
Ababaka abagobeddwa mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga baweze nga bwebatagenda kuva mu palamenti yadde kooti ebagobyeeyo.
Kooti etaputa ssemateeka olwaleero eragidde nti ababaka Mohammed Nsereko, Barnabas Tinkasimire,Wilfred Niwagaba ne Theodore sekikubo bave mu palamenti ng’okuwulira omusango gwaabwe bwekukolebwa.
Nga boogerako eri bannamawuwlire, ababaka bano bagambye nti bbo bagoberera byasalibwaawo spiika eyabawa ebifo ebyenjawulo.
Wabula bbo bannamateeka baabwe abakulembeddwamu Medard Lubega Ssegona bagamba nti bakujulira