Amawulire
Ababaka abakyala baddukidde wa Sipiika kukutulugunyizibwa
Bya Rita Kemigisa,
Ababaka ba Parliament abakyala okuva ku ludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti bekubidde enduulu eri Speaker Anita Among nga balaga butali bumativu n’engeri Poliisi gyeyatulugunyamu mubaka munnabwe ow’e Buvuma Susan Mugabi bweyali ategese olunaku lw’abakyaala mu kitundu kyakiikilira.
Oluvanyuma lw’okumutulugunya kigambibwa nti ono yayisibwa bubi natuuka n’okuweebwa ekitanda mu ddwaliro negyebuli eno gyakyaali okufuna obujanjabi.
Bano bakulembeddwa omubaka omukyala owa Mityana Joyce Bagala, ng’atuuse n’okumujukiza naye mwenyini byeyayitamu mu bitundu byakiikilira Poliisi netuuka n’okubakubamu omukka ogubalagala.
Bano basabye Speaker abakulembera bayise ekivvulu ky’obutali bumativu ku bikorwa eby’okutulunguya eddembe ly’obuntu nga biwomeddwamu omutwe ababaka ba gavumenti mu zi-district ezo.