Amawulire
Ababaka abatalina bibiina abali e Kyankwanzi bannakigwanyizi
Ababaka ba palamenti abatalina kibiina kyabufuzi mwebava balabuddwa obutabaamu kyekubira eri ekibiina ky’obufuzi kyonna nga bakola emirimu gyaabwe.
Kino kiddiridde ababaka abatava mu kibiina kyonna 35 kwabo 43 okwetaba mu lusirika lw’ab’ekibiina kya NRM wali e Kyankwanzi.
Ssentebe w’ababaka bano mu palamenti Sam Otada agamba abo bonna abetabye mu lusirika luno bannakigwanyizi nga era basaanye okuvumirirwa.
Otada wabula agamba kitono ky’ayinza okukolera ababaka bano.
Ate ye akulira oludda oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Wafula Oguttu ategezezza nga bwatayiguse ttama ku ky’ababaka ba palamenti abatalina kibiina okwetaba mu lusirika lw’ab’ekibiina kya NRM e Kyankwanzi.
Wafula agamba y’ategezeddwa nga ababaka bano bwebayitiddwa okuyambako aba NRM okuteesa ku nongosereza mu mateeka g’eby’okulonda .
Wabula agamba singa bamalayo wiiki yonna e Kyankwanzi, awo wajja kubaawo akabuuza.
Mu nnaku 7 ab’ekibiina kya NRM zebagenda okumala e Kyankwanzi, baakwetegereza manifesito y’ekibiina kya NRM mu myaka 5 egiyise.