Amawulire

Ababaka abavuganya babaguze- Wafula

Ali Mivule

August 8th, 2014

No comments

Wafula oguttu

Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Wafula Ogutu avumiridde ekya gavumenti okwongera okusaasanya omusimbi mu babaka ab’oludda oluvuganya gavumenti.

Nga ayogerako ne bannamawulire olwaleero, Oguttu ategezezza nga bwewaliwo ababaka 18 ab’oludda oluvuganya abaafunye obukadde 110 okuva eri gavumenti okusasula amabanja agabali mu bulago.

Agamba kino kikontana n’amateeka agakwata ku by’ensimbi kale nga ssababalirizi w’ebitabo bya gavumenti asaana anonyereze ku nsonga eno.

Oguttu ayagala gavumenti enyonyole wa gyejja ssente zino zemansa mungeri y’ekyeyononero.

Ono era agamba nti okunonyereza kutandise ku babaka abamu abaalidde ssente zino.

Guno ssigwemulundi ogusoose nga ssente efuuko ensonga mu palamenti nga ne gyebwavuddeko wwaliwo oluvuuvumo nti abamu baalya ez’okujjawo ekkomo ku kisanja ky’omukulembeze w’eggwanga.