Amawulire
Ababaka abaagobwa mu NRM baluyiseeko
Kkooti ensukkulumu ekkirizza ababaka abana abaagobwa mu kibiina kya NRM okusigala mu palamenti.
Kkooti eno esazizzaamu ekiragiro kya kkooti etaputa ssemateeka okubagoba nga kati balina kulinda musango gukolebweeko gwonna.
Okusalawo kuno kukoleddwa abalamuzi 7 nga bakulembeddwamu Wilson Ssekokko nebategeeza nga okusaba kw’ababaka bano bwebakulabyemu eggumba
Bano era balagidde Kakiiko k’ebyokulonda obutagezaako kutegeka kulonda kwonna kujuza bifo by’ababaka bano.
Nga 21 February omwaka guno, kkooti etaputa ssemateeka yalagira abana bano okuli Theodore Sekikubo, Muhammed Nsereko , Wilfred Niwagaba ne Barnabas Tinkasimire okwaamuka palamenti era ebifo byaabwe birangirire nti bikalu.