Amawulire

Ababaka ba Palamenti bawakanyiza ensimbi eziweereddwa amaka ga Pulezidenti

Ababaka ba Palamenti bawakanyiza ensimbi eziweereddwa amaka ga Pulezidenti

Ivan Ssenabulya

May 18th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Ababaka ba palamenti ab’oludda oluvuganya gavumenti bagaanye obuwumbi bwa shs 454 ezaaweerebwa amaka gómukulembeze wéggwanga mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja 2023/2024.

Bano bagala amaka gómuk weggwanga gaweebwe wakiri obuwumbi 21 ezisigadde obuwumbi obusoba mu 400 zigende mu by’obulamu byéggwanga.

Bwabadde ayanjula alipoota y’abatono ku mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja, omubaka wa munisipaali y’e Kira Ssemujju Nganda, ayogedde kunsimbi ezagerekeddwa okugenda mu maka gómuk weggwanga nti zimenya ssemateeka n’alaga nti si kya bwenkanya pulezidenti okunyumirwa eby’okwejalabya ng’ebyo ku nsimbi za Bannayuganda abaavu.

Ssemuju alabudde nti embalirira bwetyo yanditegeeza nti pulezidenti asaasaanya akawumbi kamu, obukadde 47 buli ssaawa ate akakadde 1.5 buli ddakiika bbiri.

Ono era awakanyiza obukadde 350 ezaabaliriddwa okugenda mu maka gómuk weggwanga okukola ku byókugula engato, engoye ne bitanda.

Ssemujju anyonyodde nti embalirira eno etegeeza nti pulezidenti asasanyizibwako akakadde kamu buli lunaku ezókugula engoye.

Ono era ategezeza ababaka nti waliwo nóbuwumbi 7 nobukadde 800 ezalagibwa nti zakugenda mu byokugula ebyobulimi ne ddagala lye birime, neyebuuza oba amaka ga pulezidenti gafuuka faamu ya nnimiro.