Amawulire

Ababaka babazinzeeko, akatale ka Kisekka kaggaddwa

Ali Mivule

November 18th, 2013

No comments

deployment at mayor's home

Poliisi esazeeko ababaka okuli  Mohammed Nsereko, Barnabas Tinkasimire, Joseph Sewungu, ne Theodore Sekikubo nga bano babadde mu katale ke wa kisekka.

Ababaka bano babadde bagenze kukyalira basuubuzi mu kaseera nga beekalakaasa nga bawakanya eby’okusindikiriza loodimeeya Erias Lukwago

Ababaka bano okuvanyuma baddukidde mu kifo kya little flowers kyokka ng’eno nayo poliisi ebetoolodde era obwedda abagoberera okutuukira ddala ku palamenti

Yyo poliisi esazeew okuggala akatale oluvanyuma lw’abasuubuzi okugaana okusalako okwekalaasa.

Abasuubuzi bonna balagiddwa okukaamuuka era nga kati poliisi y’ekatwala