Amawulire
Ababaka bagala baminisita bé Karamoja balekulire ebifo byabwe
Bya Prossy Kisakye,
Ababaka ba palamenti abava mu bitundu bye Karamoja baagala baminisita bombi avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja balekulire nga babalumiriza okukwata bubi ebintu ebyali ebigendereddwamu okuganyula abantu b’e Karamoja abaakosebwa okuggyibwako emmundu.
Bwabadde boogera eri bannamawulire ku palamenti, ababaka bano nga bakulembeddwaamu ssentebe waabwe Remigio Achia, balumirizza minisita omubeezi ow’ensonga z’e Karamoja Agnes Nadutu ne minisita omukulu Goretti Kitutu okukweka obuyambi buno mu maka gaabwe.
Achia alumiriza nti amaati agalina okugabirwa abantu b’e Karamoja gasangiddwa mu maka ga Nandutu ate ensawo za buwunga zasangiddwa mu maka ga Kitutu.
Asabye pulezidenti akole okunoonyereza okujjuvu ku nsonga eno era ng’asaba baminisita bombi okulekulira olw’okukola ekikolwa ekiswaza.
Mungeri yeemu omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Napaka Faith Nakut, agamba nti singa baminisita bano bombi balemererwa okulekulira olwo pulezidenti alina okuggyawo ekifo kya minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja kuba tekigasa bantu mu kitundu kino.