Amawulire

Ababaka bagala kunyonyoka  ku bulumbaganyi obwakolebwa e Kasese

Ababaka bagala kunyonyoka ku bulumbaganyi obwakolebwa e Kasese

Ivan Ssenabulya

June 20th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekitundu ku babaka ba palamenti baagala gavumenti enyonyole lwaki abayeekera ba ADF baalumbye essomero e Kasese ne batta abantu abasoba mu 40 nga waakayita ennaku ntono nga gavumenti eggye emisango ku Musinga wé Rwenzururu.

Ababaka okuli owa Buyaga West, Barnabas Tinasiimire, omubaka wa Buvuma county, Robert Migadde Ndugwa, n’omubaka wa Nakaseke south, Luttamaguzi ssemakula basaba wabeewo okunoonyereza okw’obwegendereza ku bulumbaganyi obwakolebwa kussomero nga beebuuza lwaki oluvannyuma lw’okuyimbula Charles Mumbere abantu be baalumbibwa ne battibwa.

Omubaka Luttamaguzi ayagala gavumenti erongoose embera za abaserikale ng’atebereza nti bandiba nga baalaba omulabe ne batatawaana kumuyimiriza olwennaku nabo gyebalina.

Ate omubaka wa Buvuma County MP, Robert Migadde Ndugwa agayala abebyokwerinda bakkiriza nti balemereddwa okukuuma bannansi na ddala ku bitundu ebyokunsalo kuba guno sigwe mulundi ogusoose obulumbaganyi buno okubaawo.