Amawulire

Ababaka bagobeddwa mu palamenti

Ali Mivule

February 21st, 2014

No comments

mps in session

Kkooti erangiridde nti ebifo by’ababaka abana abagobwa mu kibiina kya NRM bikalu.

Bano era tebagenda kuddamu kukwata ku musaala nga n’akakiiko akalondesa kalagiddwa okutegeka okulonda mu bifo gyebava

Yye spiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga alagiddwa obutaddamu kukkiriza babaka bano kuddamu kwetaba mu ntuula za palamenti.

Ebisaliddwaawo abalamuzi bano bisomeddwa Steven Kavuma.

Abalala kubaddeko Richard Buteera, Faith Mwondha ne Augustine Nshimye

Wabula omulamuzi Remmy Kasule ayawukanye ku banne bw’ategeezezza ng’omubaka bw’atayinza kugobwa mu palamenti olw’okugobwa mu kibiina ekyamuleeta okujjako nga yeeyegobye mu kibiina kino.

Wabula ,munnamateeka w’ababaka bano, George Kanyeihamba agamba nti bakujulira okusalawo kuno

Ababaka aboogerwaako kuliko Theodre Ssekikubo, Barnabas Tinkasimire, Mohammed Nsereko ne Wilfred Niwagaba