Amawulire

Ababaka bakubaganye empawa ku musolo gwa boda

Ali Mivule

August 5th, 2014

No comments

Bodabodas

Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga z’abakozi ba gavumenti bakubaganye enpawa ku ky’abagoba ba bodaboda okuwa omusolo

Ng’alabiseeko mu kakiiko kano, minisita wa gavumenti ez’ebitundu Adolf Mwesigye agambye nti yadde waliwo amaloboozi agasaba nti aba piki basaabye okusasula omusolo kiyinza okukosa emirimu gyaabwe

Omubaka Raphael Magyezi agambye nti emisolo gino mugugu eri ababodaboda bano ate nga basobola n’okukola nga tebasasudde

Wabula ate ababaka abalala okubadde Betty Nambooze ne Roland Mugume bategeezezza ng’omusolo guno bwegujja okuyamba mu kuleeta omusolo n’okutereeza aba bodaboda

Nambooze agamba nti mu kadde kano, abantu bagula piki nebatandikirawo okukola awatali buvunanyizibwa bwonna era y’ensonga lwaki gulumbiddwa ababi

Aba bodaboda baakoma okusasula omusolo  nga bakolera bwereere mu kibuga