Amawulire

Ababaka bakubye ebituli mu ntekateeka z’okulwnyisa COVID-19

Ababaka bakubye ebituli mu ntekateeka z’okulwnyisa COVID-19

Ivan Ssenabulya

July 12th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ababaka ba palamenti ku kakiiko akamasekati ge’gwanga akwalnyisa ssenyiga omukambwe, banenyezza gavumenti olwokubalaatira mu ntekateeka zokulwanyisa nabe wa COVID-19.

Wiiki ewedde abakulu okuva mu minisitule yebyobulamu, nga bakulembeddwamu minisita Jane Ruth Aceng n’omuwandiisi owenkalakkalira Dr Dian Atwine beyanjula eri akakiiko ka palamenti nebanyonyola gavumwenti wetuuse mu kulwanyisa ssnyiga omukambwe.

Wabula mu kulambula kwebaliko, okwatandika ku lunnaku Lwokutaano mu malwaliro agali ku mutendera gwa referral okuli erye Mityana, Mubende ne Kirundu, ababaka baazudde nga byonna ebyabanyonyolwa bwali bulimba.

Bwabadde ayogerako naffe, omubaka omukyla owa disitulikiti ye Kyotera Rose Fortunate Nantongo agambye nti amalwaliro agasinga tegalina bitanda bya ICU, agalina tebikola, amalala bikadde nnyo, songa gavumenti yalaga nti ebitanda byagulibwa era biri mu malwaliro.

Ono agambye nti abasawo tebalina bikozesebwa okwetangira obulwadde, era bangi tebanasasulwa nsako yaabwe.

Akakiiko ka palamenti kano, kakulemberwamu omubaka Dr Micheal Bukenya.