Amawulire

Ababaka balaze okutya ku Ebola- gavumenti egumizza abantu

Ali Mivule

July 31st, 2014

No comments

Rukahana

Minisita akola ku byobulamu Dr. Ruhakana Rugunda agamba nti amawulire g’okubalukawo kwa Ebola mu bukiikkakkono bw’eggwanga ssi matuufu

Kiddiridde okufa kw’omusajja agambibwa okubeera n’ekirwadde kino mu ddwaliro lye Kitgum

Ng’ayogerako eri bannamawulire, Dr Ruhakana Rugunda agambye nti tebannategeezebwaako ku nsonga eno era ng’eggwanga teririimu Ebola

No ebola lug

Wabula ate mu kusooka, avunaanyizibwa ku ndwadde ezibalukawo, Dr Issa Makumbi yatutegeezezza nga kituufu obulwadde buno bwebabadde bubaluseewo.

Makumbi yagambye nti omugenzi yajjiddwaako omusaayi okwongera okwetegereza okulaba oba Ebola oba nedda

Yye nno omusawo mu ddwaliro lye Kitgum Dr Goeffrey Akena naye yatukakasizza nti omuntu eyafudde yabadde n’obubonero bwonna obwa Ebola.

Justine Abwola kigambibwa okuba nga yafudde efuluma musaayi mu bitundu bye eby’omubiri ebitali bimu.

Abwola yatwaliddwa mu ddwaliro ng’alumwa lubuto kyokka oluvanyuma yatandise okuvaamu omusaayi okutuuka lw’afudde

Dr Akena wabula agamba nti bakyalondoola famire y’omugenzi okulaba nti bwekiba kituufu nti Ebola tayongera kubuna

Mu palamenti ensonga eno yatuuse dda ng’omubaka Patrick Amuriat atadde gavumenti ku nninga okunyonyola kiki ky’ekola okulaba nti Uganda yetangira obulwadde buno obutigomya abali mu bugwanjuba bwa Africa

Yye Omubaka Alice Alaso ategeezezza nga bwebafunye amawulire g’okufa kw’omwami mu ddwaliro lye Kitgum era nga keekadde gavumenti etangaaze eggwanga

Kati amyuka ssabaminista asooka Moses Ali asuubizza nti minisita w’ebyobulamu wakuvaayo n’ekiwandiiko ekilambulukufu ku nsonga eno.