Amawulire

Ababaka balaze okutya kw’abantu n’ebibagaana okugemebwa COVID-19

Ababaka balaze okutya kw’abantu n’ebibagaana okugemebwa COVID-19

Ivan Ssenabulya

November 5th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe ne Ritah Kemigisa

Ababaka ba palamenti bogedde okutya okuli mu bantu, ekikyagaanye abangi okugenda okugemebwa ssenyiga omukambwe.

Olunnaku lweggulo minisita webyobulamu Dr Jane Ruth Aceng asomedde palamenti ekiwandiiko ngalaga entekateeka zokugema bwezikyatambudde mu gwanga.

Minisita agambye nti abantu 14% mu gwanga lyonna bebakagemebwa ssenyiga omukambwe, ngabantu emitwalo 70 mu 5,940 bekagemebwa doozi zonna okugwayo.

Abalala obukadde 2 nemitwalo 40 bakagemebwa doozi esooka, balinze yakubiri.

Kati ababaka okubadde akulira oludda oluvuganya gavumenti Mathias Mpuuga, Silas Aogon, Betty Aol Ocan nabalala bagambye nti abantu bakyalina okutya ku nsoga nnyingi ku byokugemebwa.

Bagambye nti abamu batya nti bwebanagemebwa tebajja kuddamu kuzaala, batya okufa nebiralala ebyataaga minisistule okwongera okutangaaza abantu.

Mungei yeemu minisita webyobulamu Dr Jane Ruth Aceng akirizza nti tealina nsimbi zimala, okusiima nokumatiza abasawo abali mu muliu gwokugema.

Agambye nti okuva okugema kwatandika, abasawo babadde bakawebwayo 5000 ngakasiimo.

Mu Malala, minisitule yebyobulamu etegezezza nti okutandika nga 8 Novemba bagenda kwongera maanyi mu kugema ssenyiga omukambwe.

Minisita agambye nti baazudde ngabantu bebaali bateeka ku mwanjo okugemebwa okuli abakadde nabalala, ate batono abajumbidde.

Agambye nti kati bagenda kutwala okumema mu bitundu byegwanga ebyobwagagavu ebyenjawulo, neddagala erimala, nokujungulula obulimba bwonna abantu bwebalina ku kuygemebwa.

Agambye nti kwefube bagenda kumwongeramu amaanyi mu Kampala nemirirwano, bamutwale e Teso, Lango, Acholi nemu kitundu kya Kigezi.