Amawulire
Ababaka balumbye gavumenti ku masomero
Ababaka mu lukiiko olukulu olw’eggwanga balumbye gavumenti olw’obutakola kimala kukuuma masomero agasanyizibwaawo
Okwemulugunya kuno kuleeteddwa omubaka we Lwemiyaga ng’ono ensonga ye ewagiddwa ababaka okubadde Medard Ssegona, JosephSsewungu, Odonga Otto,ne Paula Turyahikayo nga bonna basabye nti gavumenti enyonyole lwaki terina ky’ekoze ng’amasomero gagenda
Wabula ekyewunyisizza minisita w’ebyenjigiriza Jessica Alupo naye omusango agusalidde minisitule ekola ku nsonga z’ettaka gy’agamba nti egaba ettaka ly’amasomero.
Kati amyuka ssabaminisita asooka Gen Moses Ali alagidde minisita ensonga eno okugikolako sitatimenti mu palamenti ssaabbiiti ejja olw’okubiri
Sipiika era alagidde nti wabeewo ekiteese ekitongole olunaku lw’enkya ekireetebwa ku nsonga eno.