Amawulire

Ababaka basabye Gavt okukyusa mungeri gyelwanyisamu Ebola

Ababaka basabye Gavt okukyusa mungeri gyelwanyisamu Ebola

Ivan Ssenabulya

November 1st, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye ne Juliet Nalwooga,

Ab’oludda oluvuganya mu palamenti basabye gavumenti okukyusa enkola y’okulwanyisa okusaasaana kwa Ebola okuva ku kussa essira ku balwadde ssekinnoomu okudda mu kutunulira amazzi agava mu balwadde bano, okuyita mu kutanaka, okudukana, entuuyo ne birala agayinza okusiga abalala obulwadde.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku palamenti minisita w’ebyobulamu ow’ekisiikirize Dr Timothy Batuwa ategeezezza nti waliwo abantu abali mu bulabe obw’amaanyi obw’okukwatibwa ekirwadde kya Ebola okugeza aba boda boda n’abakozi b’omumaka gavumenti beetarowoozzaako mu kulwanyisa ekirwadde kino.

Mungeri yeemu alaze obweraliikirivu olw’ebbula lya gloves ez’omu ngalo ezeetaagisa mu kutangira obulwadde buno ekitadde abakozi b’ebyobulamu n’abalabirira abalwadde ba Ebola mu bulabe bw’okukwatibwa obulwadde buno.

Era minisita w’ekisiikirize avunaanyizibwa ku by’amawulire era nga ye mukyala omubaka wa disitulikiti y’e Mityana mu Palamenti, Joyce Bagala mweraliikirivu olw’aba famire abasima emirambo gy’abooluganda baabwe abafudde ekirwadde kya Ebola okukola emikolo gy’eddiini.

Ababaka okuvaayo bwebati ngomuwendo gwa bafudde ekirwadde kye Ebola mu ggwanga gutuuse ku bantu 43 songa abakakwatibwa ekirwadde bali 130, abakisimatuse bali 45 nabapookya nakyo kundiri bali 40.

Kino kidridde abantu abalala 6 okufa ekirwadde kino olunaku lweggulo.