Amawulire

Ababaka batabukidde abakungu ba KCCA kunsimbi zebatakozeseza

Ababaka batabukidde abakungu ba KCCA kunsimbi zebatakozeseza

Ivan Ssenabulya

March 2nd, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Ababaka ba palamenti abatudde ku kakiiko akalondoola emirimu egikolebwa ebitongole bya gavumenti aka COSASE, batadde abakungu okuva mu kitongole kya Kampala Capital City Authority kunninga banyonyole lwaki bakomezaawo obuwumbi bwensimbi 13.56 mu nsawoyeggwanga nga waaliwo obwetaavu okukozesa ssente zino mu bizibu ebiruma bannakampala.

Ababaka bakunnyiza abakungu ba KCCA nga basinzira ku alipoota yomubalirizi wébitabo bya gavumenti.

Nga bagasimbaganye naba KCCA nga bakulembeddwamu akulira ekitongole kino, Dorothy Kisaka, ababaka baakitegedde nti obuwumbi buna n’obukadde 800 ku buwumbi 13.56 obwaddizibwa bwali bugendereddwamu kuyingiza basomesa ba masomero ga siniya na basawo kyokka ne zitakola.

Omubaka wa Kyadondo East- Nkunyingi Muwada ne ssentebe w’akakiiko kano- Joel Ssenyonyi beebuuzizza lwaki ssente zino zaddizibwa songa nga mu malwaliro ga KCCA temuli basawo songa waliwo n’ebbula ly’abasomesa mu masomero.

Wabula omubalirizi w’ebitabo mu KCCA Chrispus Aruho asabye baweebwe akadde akalala bakomewo babatangaze lwaki ensimbi zino tezakola.