Amawulire

Ababaka battiddemu kungeri abantu gyebongedde okutabuka emitwe

Ababaka battiddemu kungeri abantu gyebongedde okutabuka emitwe

Ivan Ssenabulya

May 11th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Ababaka ba palamenti balaze okutya kungeri abantu gyebongedde okulwala ebirwadde byobwongo.

Alipoota okuva mu minisitule yebyobulamu yalaze nti banna-Uganda obukadde 14 bebalwadde bemitwe ku mitendera egyenjawulo.

Tororo omubaka omukyala owa disitulikiti ye nga ye ssentebbe wekibiina ekigatta ababaka abkyala ekya UWOPA Sarah Opendi asomozza gavumenti okuvaayo okugonjoola ekizbu kino.

Ssentebbe wakakiiko kebyobulamu mu palamenti Dr Charles Ayume alaze okutya ku muwendo gwabasawo bemitwe omutono.