Amawulire
Ababaka bawabudde Gavt oluvanyuma lwa Banka yensi yonna okusazaamu Obuyambi
Bya Prossy Kisakye,
Ababaka ba palamenti basabye gavumenti eyongere okukekkereza mu nsaasaanya yaayo nga Banka y’ensi yonna yakamala okulangira enteekateeka z’okukomya okuwagira Uganda mu by’ensimbi olw’okussaawo etteeka erirwanyisa ebisiyazi.
Banka eno ejuliza nti etteeka lino likontana nnyo n’empisa ya Banka y’ensi yonna n’okwolesebwa kwabwe.
Okulangirira kuno kuzze mu kiseera nga looni za Uganda ezibalirirwamu Shs5.223Tn ziri mu nteekateeka okuva mu Bbanka y’ensi yonna wansi w’emitendera egy’enjawulo egy’okuteekateeka, nga mukaseera kano ebibuuzo byeyongedde oba ddala sente zino zinavaayo.
Kunsiimbi zino kuliko obuwumbi obusoba mu 542.800 eza Pulojekiti y’okusiga ensimbi mu makolero n’okutondawo emirimu, akatabalika kamu nóbuwumbi 800 ezokukola enguudo mu kampala nemiriraano ate akatabalika kamu nakuwumbi kamu zaakuvujirira bya nkyukakyuka mumbera yóbudde.
Ababaka ba palamenti benyamidde nga bagamba nti obuyambi bwa banka yensi yonna Uganda ebadde ebwetaaga nyo wabula ate nekyokutaasa obuwangwa bwa wano kikulu nyo.
Omubaka wa Bugiri Municipality, Asuman Basalirwa, eyaleeta etteeka lino mu palamenti awadde gavumenti amagezi okutandika okuddukira mu mawanga ga bawarabu yewole ensimbi enyangu ate nga teziriiko bukwakulizo bukkakali.