Amawulire

Ababaka bawakanyiza ekyókwongera ku bungi bwábalamuzi

Ababaka bawakanyiza ekyókwongera ku bungi bwábalamuzi

Ivan Ssenabulya

November 24th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ababaka ba palamenti abatuula ku ku kakiiko akalondoola eby’amateeka bawakanyizza enoongosereza gavumenti zeyanjudde mu palamenti okwongeza omuwendo gw’abalamuzi mu kkooti ensukulumu ne kkooti ejjulirwamu.

Minisita wébya ssemateeka, Norbert Mao ku lwa government  yayanjula ennongosereza mu tteeka lya Judicature Act n’ekigendererwa eky’okwongeza omuwendo gw’abalamuzi okuva ku balamuzi 15 aba kkooti ejjulirwamu okutuuka ku balamuzi 55,  n’okwongeza omuwendo gw’abalamuzi ba kkooti ejjulirwamu okuva ku balamuzi 11 okutuuka ku balamuzi 21

Gavumenti egamba nti okwongeza omuwendo gw’abalamuzi ekikola okukendeeza ku muwendo gw’emisango egyetuumye mu kkooti.

Mu nsisinkano y’akakiiko Ka parliament ak’amateeka, omubaka wa Bugweri Abdu Katuntu era munnamateeka akinogaanyiza nti emisango okwetuuma mu kkooti kiva ku nkola y’emirimu etategekeddwa bulungi mu ssiga eddamuzi, n’obunafu bw’abalamuzi.

Awadde eby’okukabirako eky’amawanga agali yadde yaddeko ng’omuwendo gw’abantu mungi okusinga Uganda, agalina abalamuzi abatono, kwekwebuuza Uganda kyebala ekituufu okwongeza omuwendo gwábalamuzi nga nénsimbi ezirina okubasasulwa teziriiwo.