Amawulire
Ababaka bongedde amaanyi mu tteeka ku bisiyaga
Omuwendo gw’ababaka abassa emikono ku kiwandiiko ekisaba nti etteeka ku bisiyaga likomezebweewo mu palamenti gutuuse ku 172
Olukalala okukuumibwa omubaka we Kawempe mu bukiikakkono Latif Ssebaggala lulaga nti omubaka Florence Mutyabule y’asembye okussaako omukono.
Ssebagala agamba nti musanyufu nti ababaka tebeganyizza kussa mikono ku kiwandiiko era nga bangi bakyajja
Yye omubaka akiikirira abantu be Kole Fred Ebil agambye nti kati balwana kulaba nti omubaka Fox Odoi , ssabaminisita Amama Mbabazi ne muk’omukulembeze w’eggwanga nabo bassa emikono ku kiwandiiko.