Amawulire
Ababbi b’amazzi babakutte
Ekitongole ky’ebyamazzi olwaleero kikoze ebikwekweto mwekikwatidde ababbirira amazzi era nebabasalako.
Abasoose okusalwako beebe kifo webooleza emmotoka ekya Evolutions washing bay ekyoku payini ekisangibwa ku luguudo lwa Lumumba Avenue.
Abakulira ekifo kino kigambibwa okuba nti bataganjula mita y’amazzi nga era babadde basasula ssente ntono okusinga kw’ezo zebalina okusasula.
Akuliddemu ekikwekweto kino , Gilbert Muhwezi agamba ebikwekweto ebitandise olwaleero byakusaasanira kampala yonna okukwata abo bonna ababbirira amazzi.