Amawulire

Ababbi basobeza ku mukozi wakaka ate ne bamuttuga

Ababbi basobeza ku mukozi wakaka ate ne bamuttuga

Ivan Ssenabulya

September 23rd, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Ensisi ebutikidde abatuuze ku kyalo Budumbura mu Munisipaali y’e Kamuli ababbi abatannaba kutegeerekeka bwe bayingiridde amaka agamu ne basobya ku mukozi wekaka ate oluvanyuma ne bamugwa mumalaka ne bamutta.

Ssentebe wa LC1 mu kitundu kino, Joshua Ngobi agambye nti omugenzi eyategeerekeseeko erya Jackline nga abadde akola mu maka ga Gertrude Nyamwenza.

Ngobi agamba nti omugenzi abadde yeebase mu kisenge ababbi mwe bamusanze ne ne bamukolako ebyensonyi ate ne bamuttuga.

Omuntu omu akwatiddwa ku by’obutemu buno.

Ono mutuuze ku kyalo Budumbura eyalabibwako mu maka gano emabegako era nga abadde alemesa abatuuze okutegeeza poliisi