Amawulire
Ababeera okumpi n’omwala gwe Nalukolongo baakusengulwa
Ebikumi n’ebikumi by’abatuuze ababeera kumpi n’omwala gwe Nalukolongo basabiddwa okwamuka ekifo kino okusobola okukolebwaako.
Meeya we Lubaga Joyce Ssebugwawo agamba baagala kulaba nga bagaziya omwala guno okulwanyisa amataba agamazeeko abaguliranye emirembe buli lwettonya.
Ssebugwawo agamba omwala guno buli lwegubimba ne mukoko gutawanya n’abatuuze mu bitundu ebiriranyewo okuli Ndeeba ne Nateete mu biseera by’enkuba kale nga basana okugukolako.
Palamenti omwaka oguwedde y’ayisa obuwumbi 500 eri KCCA okuzimba emyala nga era guno gwegumu ku mulimu ogugenda okusooka okukolebwa.