Amawulire

Ababodaboda bekokodde poliisi yókuluguudo okubagyamu sente

Ababodaboda bekokodde poliisi yókuluguudo okubagyamu sente

Ivan Ssenabulya

July 14th, 2022

No comments

Bya Ronald Kabanza

Abagoba ba Boda boda mu distrct ye Rukungiri bavumiridde embeera ya bakuuma ddembe mu kitundu okuyitiriza okubajamu ensimbi mungeri yolukujukujju.

Bano banaabye ensonyi ne batuuka n’okulumiriza akulira abaserikale b’ebidduka James Tibeijuka okubasaba ensimbi enyingi kyokka nga tabanyonyola tteeka lyamenye.

Omu ku bagoba ba bodaboda Sezi Tokamanya, agamba nti abaserikale bano tebakyakozesa mmotoka za poliisi okubakwata ate nga bekweka mu bufo we batabasuubira.

Kyoka yye James Tibeijuka gwebalumiriza byonna abyesamudde nga agamba okusinga bakwata batalina helmet, kko n’abamenya amateeka ge kkubo.