Amawulire
Ababodaboda ku magombolola nabo bagala nsimbi zómuggalo
Bya Prossy Kisakye
Nga gavumenti etandise ogw’okugabira abantu ensimbi mu bibuga abakosebwa némbeera eyómuggalo abavuzi ba bodaboda wamu n’abasubuzi mu gombolola ya Mumyuka Wakiso awamu ne Town Council ye Wakiso bawanjagidde government nabo okubalowoozako bawandiikibwe basobole okufuna kunsimbi ezigabibwa ssabaminisita.
Bano nga bakulembedwamu Ronnie Kizza, bagamba nti oluvanyuma lw’okubagaana okutikka abantu ate nóbusente obutono bwebabeera bakoze bakwatibwa abasirikale ne babubajako nga kati bagala bawandikibwe basobole okufuna kunsimbi.
Bbo abasubuzi mu Wakiso town council bategezea nga bwebatakyalina bintu byebatunda mu maduuka olw’abantu obutakyagula olwóbwavu obususe wamu n’ebifo gye bajjanga ebintu okubeera nga bagalawo ne basaba nabo balowozebweeko.
Wabula mu kwogeramu ne ssentebe wegombolola ye Wakiso mumyuka Felix Ssemuju Mwanje agambye nti kyanaku okulaba nga abantu abasinga obungi basula mu kitundu kyakulembera wadde nga kyagombolola naye nga tekirowozedwako okufuna ku sente zinno.