Amawulire

Ababundabunda baakugemebwa ekirwadde kya kolera.

Ivan Ssenabulya

May 4th, 2018

No comments

Bya samuel sebuliba.

Gavumenti  ya uganda etegeezeza nga bwegenda okutandika okugema  abantu be Hoima abakoseddwa ekirwadde kya Cholera nga bano okusiga bebabundabunda.

Okugema kuno kugenda kugassa abantu abasuka mu  mitwalo 36  mubifo 6 okuli Kyangwali, Kigorobya Kabwoya  egombolola ye Buseruka , Town council  ye kigolobya, kko nenkambi yababundabunda eye Kyangwali refugee settlement.

Dr Yonas Tegegn  nga ono y’akulire ekitongole ky’ensi yonna ekikola ku by’obulamu mu uganda  agamba nti okugema kuno kwakugasa abaana okuva ku mwaka gumu n’okudda waggulu, olwo bagateko n’abakyala naddala abali e mbuto.

Okugema kuno kugenda kubeera kwamirundi ebiri , nga olugema olusooka kwakutandika nga 2 May 2018  kukomekerezebwe nga 6 May ate okwokubiri kutandike nga 6th  okutuuka 10th June.