Amawulire

Abadda mu za Wama mu bukyaamu baluguddemu

Ali Mivule

November 12th, 2014

No comments

Wamala

Abayimbi abaddamu ennyimba z’omugenzi Elly Wamala nga tebafunye lukusa bakukubwa mu mbuga z’amateeka.

Lydia Wamala ngono yomu ku bawala bomugenzi agamba nti ennyimba za Wamala zirimu obubaka era zisomesa abantu nga n’okuziddamu okuziyimba awatali kuweebwa lukuusa  kiwebuula ekitiibwa ky’enyimba zino.

Bo abayimbi 15 abakkirizibwa okuddamu okuyimba ennyimba zino bakusanyusa bannayuganda mu kivvulu ekitegekeddwa okujjukira nga bwegiweze emyaka 10 bukyanga ava mu bulamu bwensi eno.

Ensimbi ezinava mu kivvulu kino eky’okubawo ngennaku zomwezi 12 omwezi oguggya  ku Serena hotel zakuyamba mu kutumbula ebyenjigiriza ku ssomero lya Mugongo secondary school.