Amawulire

Abadde abba ente bamutemyetemye

Abadde abba ente bamutemyetemye

Ivan Ssenabulya

June 10th, 2019

No comments

Bya Sadat Mbogo

Abatuuze ababadde abakambwe okukira ennumba bakkidde omusajja ateeberezeddwa okubeera omubbi w’ente nebamutta.

Bino bibadde ku kyalo Katiiti mu gombolola y’e Kituntu mu district y’e Mpigi.

Omugenzi ye Henry Lubega ngokutibwa, abatuuze bamukutte w’abadde abaagira ente enzibe, naye nebamubaagaa.

Basoose kumutemako emikono n’amagulu era omulambo gwe nebagulekawo.

Kati poliisi ngekulembeddwamu ajidumira e Mpigi Joab Wabwire ezze nejjayo ebisigalira by’omugenzi nebitwalibwa gwanika ly’eddwaliro e Gombe okwekebejjebwa ngokunonyereza bwekugenda mu maaso.

Wabula DPC agambye tebanabaako muntu yenna gwebaakutte ku ttemu lino.