Amawulire
Abadde abba omwana akwatiddwa
Poliisi e Masaka ekutte omukyala ow’emyaka 33 ng’abba omwana omuwere mu ddwaliro
Prossy Namugera nga mutuuze we Kayirikiti Nyendo akwatiddwa luno ne bbebi omulenzi ng’ono abadde wa Christine Nakintu
Nakintu webamubbiddeko omwana abadde yeebase nga tawulira omukyala ono n’asitula omwana okuva ku kitanda kw’abadde
Wabula wabaddewo katemba omubbi w’omwana bweyefudde omulalu n’atandika okweyambula naye nga kino tekimutaasizza
Abantu bamukutte nebamukwaasa poliisi.
Mu kumukunya, omukyala ono agambye nti Ssenga we Resty Namulema eyafumbirwa omujaasi e Kasajjagirwa y’abadde amutumye
Ayongeddeko nti Senga we ono tazaala era ng’abadde ayagala kutaasa bufumbo bwe kubanga omusajja abadde asiiba amubanja omwana