Amawulire

Abadde avunanibwa okuwa omusirikale enguzi yegy’erezebwa

Abadde avunanibwa okuwa omusirikale enguzi yegy’erezebwa

Ivan Ssenabulya

October 26th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Ekitongole kya kkooti enkulu ekivunaanyizibwa ku kulwanyisa obuli bw’enguzi kisazizzaamu omusango gw’obuli bw’enguzi n’ekibonerezo ky’okusibwa Emyezi 12 egyali giweereddwa omukazi ku misango gy’okuwaayo enguzi eri omuserikale wa poliisi.

Mirembe Peace, yawozesebwa n’asingisibwa omusango gw’obuli bw’enguzi omulamuzi w’ekitongole ekilwanyisa enguzi, Asiimwe Esther, nga July 3rd ,2023.

Yavunaanibwa okuwaayo obukadde bwa sillingi bubiri eri ASP Liiga Francis OC ku Isingiro Central Police Station nga 1st March 2021 nga ayagala amuyambe bazadde be okuva mu kaduukulu ka poliisi.

Mu kwewozaako, Mirembe yeegaana emisango egyogeddwako n’ategeeza kkooti nti abasirikale bamwefulira bwefulizi bweyagaana okubawa enguzi gyebamusaba

Wabula omulamuzi Lawrence Gidudu ow’ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu kkooti enkulu asazizzaamu omusango n’okusibwa kwa Mirembe oluvannyuma lw’okubuusabuusa obujulizi bw’oludda oluwaabi.