Amawulire
Abadde ne siriimu yeetuze
Entiisa ebutikidde abatuuze b’okukyalo Bugomola mu disitulikiti ye Rakai ,oluvanyuma lwokugwa ku mulambo gwa mutuuze munaabwe eyetugidde ku muti oluvanyuma lwokwekebezza neyesanga nga allina siriimu
Gerald Nkambwe y’asangiddwa nga alengejera ku muti kumpi n’oluguudo ,oluvanyuma lw’okweyimbamu ogwakabugu bweyakizudde nga alina siriimu.
John Mulindwa omu ku baliraanwabe, agambye nti Nkambwe abadde yeeyisa mungeri etali yabulijjo era bewunyizza okukitegeera nti yeetuze.
Yye omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Noah Sserunjoji awadde abantu amagezi okugenda eri abasobola okubabudabuda nga bafunye ebizibu baleme kwetta.