Amawulire
Abadde yeefula kyabazinga akwatiddwa.
Bya Abubaker kirunda.
Police ekutte omusajja nga ono abadde agufudde muze okubba abatuuze nga yeefude kyabanzinga wa Busoga.
Akwatiddwa ye Siraje Bogere, nga ono abadde yaginga omukono gwa Kyabazinga n’atandika okutabaala amasomero nga yeefudde agaba basale.
Aduumira police ye Jinja Martin Mbabazi agamba nti omukulu ono abadde aliko abaana beyafunira busale mu masomero agawerako nga abalimbye nti ye kyabazinga- olwo ensimbi naayola.