Amawulire
Abadde yeeyita Paasita akwatiddwa
Poliisi ye Wandegeya ekutte omusajja abadde yeeyita paasita n’afera ssente okuva mu bagabi b’obuyambi n’okusobya ku bawala..
Cyrus Muwaire nga mutuuze we Kyebando Nsooba abadde asiibya abaana bajja ku nguudo enjalah era nga babadde tebasoma nga bw’abadde agamba abamu ku bazadde b’abaana bano.
Mu kiseera weyakwatiddwa, Muwaire abadde yakasobya ku muwala ow’emyaka 12 gw’abadde alabirira nga era omu ku babadde bamuwa obuyambi yeyamuwawabidde eri poliisi.
Kawefube afuna aduumira poliisi ye Wandegeya agudde butaka anti agaanye okubaako nekyayogera ku nsonga eno.