Amawulire

Abaddumira poliisi bawabuddwa okuba obulindaala

Abaddumira poliisi bawabuddwa okuba obulindaala

Ivan Ssenabulya

November 28th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Abaduumizi poliisi mu bitundu byeggwanga ebyenjawulo basabiddwa okubeera obulindaala n’okwetegekera okwenganga obulumbaganyi obw’engeri yonna obugenderera okubalumya.

Kino kijjidde mu kiseera nga obulumbaganyi bweyongedde ku bifo eby’okwerinda.

Ku wiikendi, amagye ga UPDF gaakubye omu ku bateeberezebwa okuba omu kubalumbaganyi amasasi ne bamutta abaazinzeko ekifo ky’ebyokwerinda mu Disitulikiti y’e Jinja mu buvanjuba bwa Uganda ne batta omu ku bajaasi.

Okuva olwo amagye ga UPDF gakatta babiri ku balumbaganyi mu kuwaanyisiganya amasasi nga balawuna mu kabuga k’e Kapeeka mu Disitulikiti y’e Nakaseke.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti nga bwebatannaba kuzuula kigendererwa kya balumbaganyi bano, abaserikale baabwe bateekedwa okuba abengerendereza nókuba obulindaala okwenganga abantu bano nga babalumbye.

Ate Enanga agamba nti bakazuula emmundu ssatu amasasi 88 era ebikwekweto bikyagenda mu maaso.