Amawulire
Abafa ekirwadde kya Kokolo beyongedde mu muggalo gwa Covid
Bya Prossy Kisakye,
Akulira ekibiina omwegatira bakawonawo békirwadde kya kokolo mu ggwanga ki Uganda Women’s Cancer Support Organization (UWCSO) Gertrude Nakigudde yenyamidde olw’engeri ekirwadde kya ssenyiga omukambwe gyekigotanyizamu ezijanjaba balwadde ba kokolo okwetoloola eggwanga lyonna.
Ono agamba nti ekirwadde kya covid kivirideko okunafuya ebyobuulamu songa n’amalwaliro agasinga gajula dda balwadde ba covid bokka ekiviridde abalwadde ba kokolo okulemererwa okugenda okufuna obujanjabi.
Nakigudde ategezeza nti embeera eno evirideko abalwadde ba kokolo bangi okuva mu bulamu bwensi eno olwokulemererwa okufuna obujanjabi
Akubidde gavt omulanga okuvaayo ne nteekateeka kungeri abalwadde ba kokolo gye basobola okusigala nga bafiibwako wakati mu kulwanyisa ekirwadde kya covid