Amawulire
Abafamire ya Mukajanga eyatta Abajjulizi bagala kusiimibwa
Bya Jane Nafula
Famire ya Mukajanga eyatta abajulizi ba Uganda ku biragiro bya ssekabaka Mwanga, basabye nabo okusiimibwa mu ngeri ey’enjawulo mu kukuza olunaku lw’abajulizi olutegekebwa buli mwaka nga June 3rd.
Mu 1886, Paulo Mukajanga ng’akolera ku biragiro bya Kabaka Mwanga yatta Abakristaayo 45 e Namugongo mu disitulikiti y’e Wakiso leero.
Wabula bazzukulu be baagala bateekebwe mu nteekateeka z’okukuza olunaku lw’Abajulizi.
Mu mboozi ey’akafubo ne Daily Monitor, Christine Nakazzi, omuddukanya w’olunyiriri lwa Mukajanga agamba nti singa teyatuukiriza buvunaanyizibwa bwe obw’okutta abajulizi, ensi teyandibadde ng’ejaguza.
Nakazzi agamba nti waliwo n’ebirala ku Mukajanga byeyakola abantu bye batamanyi era bwebatyo aba famire ye balina okukkirizibwa okubigabana mu nábantu mu kukuza olunaku lw’abajulizi.
Agattako nti Mukajanga tasaanidde kusalirwa musango wabula atwalibwe ng’omuntu eyali atuukiriza omulimu gwe ng’omuweereza omwesigwa owa Kabaka Mwanga 11.
Ate agamba nti Mukajanga yafa Mukristaayo kuba yenenya oluvannyuma n’atuumibwa n’erinnya Paul Kibuuka era nti bangi ku booluganda lwe bafaaza.