Amawulire

Abafude bawezze 61 e kaseese

Ali Mivule

July 6th, 2014

No comments

 

 

 

army deploys

Webuwungeeredde nga agavva e kaseese gooleka nga omuwendo gwabalumbaganyi abatidwa nga bagezaako okulumba gulinye, nga kakano gutuuse ku bantu 52 okuvva ku 42 webwakeeredde.

Ayogerera amagye ga UPDF mukitundu kino Lt Nishima Rwemizhuma atubuulide nti nakati omuyiggo gwabo abeenyigidde mu kikolwa ky’okutta banansi 9 gukyagenda mu maaso

Abatidwa kuliko Jacob Muhindo, nga ono abade muserikale , konne  Corporal Tibimanya Grace  nga kwogasse n’ab’omunjuuye basatu nga bano bateekedwa muliro , songa era ku kyalo ky’ekimu kuliko n’abntu abalala basatu abatidwa.

E Bundibugyo, nayo abatujju batuuseyo nebatta abaserikale babiri ku police okuli abade akulira police eyo Mugume Bataka Wilson ne Police Constable Aliga Swaibu.

Agaasose okuvaayo gaalaze nga abatemu bano bwebabade nakakwate ku businga bwa Rwenzururu,wabula amangu dala obusinga nebutangaaza ku nsonga eno.

Noah Nzaghale, nga ono yye Katikiro w’obusinga, atubuulidde nti  obusinga tebulina magye, kale nga ekyokuteeka obulumbaganyi buno ku Businga sikituufu, okugyako okutondawo enjawukana .