Amawulire
abagaala okukola mu makomera akakisa kaakano
Ekitongole ky’amakomera kitandise kawefube ow’okuwandiika abaserikale abajja, okwetolola eggwanga lyona.
Kawefube ono agenda okukolebwa n’ekitongole kya Justice Law and Order sector era ngagenderedwamu okukengeza ekizibu ky’ebbula ly’abakozi, oluvanyuma lw’abasibe okweyongera mu amakomera.
Akulira ekitongle kyamakomera Johnson Byabashaija agambye nti ekitongole kimaze ebbanga bakifirwa abakozi,abatwalidwa ebitongole ebirala , kale ngabasanye babazewo.
Bwabasaija agambye nti betaaga abantu 30 abalina zi degree okukola nga ba Assistant Superintendent of Prisons, 50 abalina zi Diploma okukola nga Cadet Principal Officers, ate 920 abamaze siniya ey’okuna okukola nga ba warders.
Byabashaija asabye abakulembeze okuli ba RDC, ba Kansala n’abalala okuyamba mu ntekateka eno.