Amawulire
Abagalana abamerica abaatulugunya omwana omusango gwabwe gwongedwayo
Bya Ruth Anderah,
Abagalana bannansi b’eggwanga lya America abali ku misango gy’okutulugunya ebbujje omusango gwabwe gusindikiddwa mu kiwayi kya kkooti enkulu ewozesa emisango gy’ensi yonna wano mu Kampala.
Bano bali ku misango4 okuli ogw’okukukusa abantu, okutulugunya ebbujje ely’emyaka 10, okuwangalira mu Uganda mu ngeri emenya amateeka gattako n’okukolera kuno nga tebalina lukusa.
Omuwaabi wa gavvumenti Joan Keko ku lwa Ssabawaabi wa Gavumenti enkya ya leero yatutte empapula ezisindika omusango ku kkooti ey’okuluguudo Buganda.
Keko agamba nti abawawabirwa Mackenzi ne Nicholas Spencer tebalina kwewozaako kwonna era n’asaba kkooti okubasalira ekibonerezo nga bwenaaba erabye.
Ono yesigamye ku bujulizi obwajibwa ku mukozi wabwe owa waka eyali nabo wakati wa December 2020 ne December 2022 ku kasozi Naguru, ono nga entakera yabalabanga nga bawa omwana ono ebibonerezo ebikakali natuuka n’okuloopa ku Police.
Omulamuzi Sarah Tusiime Byabashaija yakwasiddwa empapula z’omusango gwa bano ezibasindika mu kkooti enkulu okuwozesebwa.
Ono era ategeezezza abawawabirwa nga kkooti bwejja okuyita mu bannamateeka bwabwe babategeeze ddi okuwulira omusango gwabwe lwekugenda okutandika.
Abawawabirwa bombi nga batemera mu gy’obukulu 32, bayingira mu Uganda mu mwaka 2017 wabula ng’empapula zaabwe ezibakkiriza okubeera kuno zaggwako nga 21/09/2022 ne nga 30/11 2022 era nga zibadde tezizibwa nga bujja.