Amawulire
Abajaasi ba UPDF abaadduka Abatujju e Somalia babadde banywa Musulo okubaawo
Bya Daily Monitor,
Abajaasi ba UPDF abaasimattuka olulumba lwábatujju nga May 26th ku beesi yaabwe e Somalia gye baddukira okwekukuma bamazeeyo ennaku 6 nga banywa omusulo gwabwe okusobola okutaasa obulamu.
Omwogezi w’amagye ga UPDF, Brig Felix Kulayigye agamba nti abajjaasi bano basangiddwa nga banafu naye nga balamu, nga mu bano kuliko ne Lieutenant anyiga ebiwundu by’amasasi.
Ebikwata ku bulumbaganyi obwakolebwa ku nkambi ya UPDF e Somalia, pulezidenti Museveni, amale ategeeze nti Uganda yafiirwa abajaasi 54 , bivaayo mu bitundutundu oluvannyuma lw’amagye okutandika okulumba n’okuddamu okuwamba enfo yabwe eyali etwalibwa abatujju.
Omuserikale wa UPDF asinga eddaala kwabo abagenda e Somalia eyafiira mu bulumbaganyi ategeerekeseeko erya Lt Col Edward Nyororo okuva e Arua, kigambibwa nti yeekuba amasasi n’afiirawo bweyali anaatera okutwalibwa ngómuwamba abatujju ba Al-shabaab.
Mungeri yeemu amagye nga tebalaze lunaku, gategeezezza nti emirambo gy’abajaasi abagudde gigenda kutwalibwa ku nnyonyi okudda eka wiiki eno.