Amawulire

Abajulizi- emyaka kati 50 nga nga bafuuliddwa abatuukirivu

Ali Mivule

May 28th, 2014

No comments

martyrs

KKanisa ya Uganda olwaleero ejje akawuuwo  ku mulimu gw’okuzimba ekifo omugenda okuterekebwa ebyafaayo ku bajulizi.

Ssabasumba wa kkanisa ya Uganda Stanley Ntagali agamba nti abajulizi kyafaayo kya maanyi ekikungaanya ebantu okuva e bule ne bweeya kale nga buli ekibakwatako kikulu

Omusumba Ntagali era agamba nti ekifo kino kyakufuuka kya bulambuzi ekiyinza n’okuvaamu ensimbi eri ekkanisa

Ekifo kino kyakuzimbibwa mu mitendera esatu ku buwumbi 10 eza Uganda.

Yyo poliisi etandise okubangula abantu ku ngeri y’okwerindamu ebikolwa by’obutujju nga bajjukira obujulizi.

The move followed recent security alerts were Aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi agamba nti yadde poliisi weeri nate mulimu gwa buli omu okulaba nti afaayo nnyo okwewala obutujju bw’ekika kyonna

Bbo abakulembeze b’abakiristu olwaleero basabye nga bajjukira omujulizi Balikuddembe  ku katale ka St Balikuddembe akabbulwa mu mujulizi ono.

Omu ku balabirira ekijjukizo kya Balikuddembe, Emmanuel Byansi agamba nti era mu ngeri yeemu kino bakikoze okujjukira olunaku omujulizi Atanansi Bazzeketta lweyattibwa.

Amyuka ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Cristopher Kakooza y’akulembeddemu ekitambiro ky’emissa

Joseph Balikuddembe ne Bazzekutetta battibwa kumpi n’akatale a Balikuddembe era nga wano kati wazimbibwaawo ekijjukizo.