Amawulire
Abakinjaaji batabuse
Abasuubuzi abakolera mu lufula y’eggwanga enkulu balayidde okusula ku mirimu kutuuka ng’enkayaana ku ttaka lyaabwe ziweddewo
Kino nno kiddiridde KCCA okulagirwa okweddiza lufula eno okutuuka ng’abasuubuzi ne Basajjabalaba bakkiriziganyizza
Ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi, Muhammad Nsubuga agamba nti bazze nga batiisibwatiisibwa abantua batategerekeka ekireseewo okutya nti bano bandiyagala okubagoba
Nsubuga agamba nti beetegefu okukolagana ne KCCA ku nsonga z’emisolo naye nga kukubaddukanyiza lufula yaabwe , tebajja kuseetuuka