Amawulire
Abakinjaaji e Lyantonde beediimye
Abakinjaagi ba lufula enkulu e Lyantonde bavudde mu mbeera nebeekalakaasa lw’abatwala ekibuga kino okwongeza ensimbi ezibajibwako buli nsolo esalibwa.
Bano bagaanye okusala ekisolo kyonna nga era abaguzi b’enyama bakonkomaliridde ku zi Bucha.
Bano bemulugunya nti tebeebuuzibwako nga aba Tawuni kanso bongeza ssente zino nga kati buli nte esalibwa ejibwako 2000 okuva ku 1000 sso buli mbuzi kati ya 1000 okuva ku 500.
Omu ku bakinjaaji Wahabu Matovu agamba n’embeera mwebakolera mbi nga kaabuyonjo temuli mazzi kale nga obucaafu buno bwandibalwaza ssaako naabo bebaguza enyama.
Wabula yye ssentebe wa lufula eno Richard Katende bino byonna abisambazze nga yye kawefube w’okufuna tawuni kilaka Rogers Ssentongo agudde butaka anti essimu ze zonna ezimanyiddw teziriiko.