Amawulire
Abakozi abagala okuweebwa ku ssente zaabwe baakulinda
Bya Arthure Wadero
Abakozi abatereka nekitavvu kya NSSF, ababadde besunga okuweebwa ekitundu ku ssente zaabwe bandikifuuwa nga bakizza munda.
Palamenti eyomulundi ogwe 10 bweyali efundikira emirimu, yayaisa ebbago erya NSSF eraykolebwamu ennogosereza, ngomukozi aterese okumala emyaka 10 ngaweza emyaka 45 asobola okuweebwa 20% ku ssente ze.
Esuubi likendedde, omukubiriza wa palamenti Jacob Oulanya bwagaambye nti amateeka agayisibwa negatatekebwako mukono omukulembeze wegwanga gaakuletebwa buto.
Bino abyogeredde mu lutuula lwolunnaku lweggulo, lwakubirizza wamu nomumyuka we Anitah Among.
Kino kitegeeza nti namateeka amalal mu bubage, agayisbwa plamaneti gagenda kukosebwa
Oulanya ayise mu mateeka okwogera bino.